Bya musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza Abantu ba Kabaka okwewala ebintu ebiyinza okubaawula kibayambe okuba awamu nga balwanyisa ababerimbikamu okunafuya Buganda.
Katikkiro bino yabyogeredde ku mukolo gw'okusaba kw'okwebaza Katonda olwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okutuuka ku mazaalibwage ag'omulundi ogw'e Nsanvu mu gumu ogwabadde ku lutikko y'omutukuvu Nicholas e Namungoona.
Omjkolo gwetaniddwako nnamungi w'omuntu omwabadde bannaddiini okuva mu nzikiriza ez'enjawulo, bannabyabufuzi , abakungu okuva mu gavumenti eya wakati ne Mmengo n'abantu abalqla bangi okuva mu bitundu eby'enjawulo.
Ku mukolo guno, Nnaabagereka Sylvia Nagginda eyabadde anekedde mu busuuti eyaalangi emmyufu yeyabadde omugenyi omukulu.
Nnabagereka Sylvia Nagginda ne Katikkiro Charles Peter Mayiga basookede mu office ya Lutikko ne Bassa emikono mu kitabo ky'abagenyi n'oluvannyuma ne bayingira mu lutikko gye baababuuliridde ebifa ku nzikiriza y'abasodokisi n'ebyafaayo byayo bya lutikko eno.
Okusaba kwakulembeddwamu Ssabalabirizi Yeronomoosi Muzeeyi nga ayambibwako abasumba abalala.
Katikkiro Mayiga yagambye nti amazaalibwa ga Kabaka gakuzibwa nga geesigamiziddwa ku nnyingo ssatu okuli Obukulembeze, Obumu n'Ebyobulamu.
Katikkiro yayozaayozezza Kabaka olw'okutuuka ku mazaalibwa ge ag'emyaka 71 egyekitiibwa era n'asaba abantu ba Buganda obutakkiriza bantu ababawubya nga bagenderera okubaawula.
Yakikkaagirizza nti kati Buganda etunuulidde okunnyikiza enkola ey'okusitula omutindo ku bintu byayo nga ssinga enessa mu nkola eky'okunnyikiza Obumu mu bantu ba Kabaka gy'eraga waggya kuba watangaavu.
Ow'ekitiibwa John Chrisestom Muyingo era nga ye Minisita ow'ebyenjigiriza ebya wansi ye yakiikiridde President Museveni negavumenti eyawakati.
Muyingo bweyabadde atuusa obubaka bwa Pulezidenti yagambye nti omukwano wakati wa Kabaka ne PuleIdenti Yoweri Kaguta Museveni gwa maanyi era mu bubaka bwe yamuyozaayozezza okutuuka ku mazaalibwa gano. Mu kiseera kye kimu yamwebazizza okutumbula Obuganda ng'ayita mu buweereza obw'engeri ez'enjawulo.
Pulezidenti yawaddeyo amakula ga bukadde 20 agaakwasiddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ate bbo Abasodokisi nabawa obukadde 10.
Yasabye bannabyabufuzi okutwalanga ensonga zaabwe mu bifo ebituufu bwe baba baagala ziwulirwe n'anokolayo ekya palamenti gyeyagambye nti ky'ekifo mwebasalirawo ku nsonga z'eggwanga.
Bano baasaze keeki eyakoleddwa aba kkampuni ya Bake for me era ne bagabula Obuganda.
Gallery


Ebiteeso (0)
Tuwe endowoozayo
Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo