Wofiisi y'Abataka n'Ebika by'Abaganda
Bino by'ebika byaffe ataano mw' ebibiri (52) ebimanyuddwa nga bitambula era byenyigira mu buweereza bwabyo mu bujjuvu eri omutanda. Wabula, waliwo n'ebika ebyaliwo okuva emabega kyokka nebidobonkana oluvannyuma lw'entqlo ezaaliwo ebika bingi nebigenda nga byekweka mu birala nga batya okukwatibwa m'okubonerezebwa olw'emisango gyebaakola. Eby'embi abantu b'ebika bino ebimu bwe byakweka tebyabbulukuka newankubadde nga Obuganda bwe bwaddamu okufuna Kabaka era bewassibwawo olukiiko okunoonyereza ku bika by'abaganda okulaba nga bizzibwawo, ebyo byabulwako abantu ababyeddira abaavaayo okubibanja. Bambi abantu abo baasigala mu bika ebitali bimu nga n'okutuusa kati baasigala eyo tebamanyiddwa. Ebika ebyo ku lukalala luno birambiddwa n'akamunyenye