AB'ESSIGA LYA KIMAKA E BUZZIRI BAKIISE E LWADDA.
Ekika ky'eMpologoma kitandiseewo enkola ey'okukiika e Lwadda n'ettu nga abazzukulu balambula obutaka bwabwe ate n'okusisinkana Jajjaabwe Nnamuguzi.
Mu nkola eno, abazzukulu bakiika mu mpalo nga basinziira mu masiga gaabwe nga ab'essiga lya Kimaka e Buzziri be baalidde empanga.
"Kaweefube ono wakutuyamba nnyo okulaba nga abaana n'abazzukulu abeddira e Mpologoma bongera okumanya obuvo bwabwe.
Wano wetugenda n'okumanyira obujjumbize n'obukozi bw'abakukembeze n'abazzukulu mu buli masiga nga bwe galambikibwa" omutaka kisekka Ddungu Patrick Katikkiro W'ekika ky'empologoma bwe yagambye.
Omutaka Kimaka bweyabadde ayogera yaloopedde Jajja Nnamuguzi Omutaka Erukaana Lukanga ng'abazzukulu mu ssiga lye bwe batafaayo okununula n'okukuuma obutaka bwabwe obuli ku kizinga Buzziri mu ssese nga mu kiseera kino abantu abatali bamu beesomye okukyesenzaako ekintu eky'obulabe eri ekika.
Mu kiseera kye kimu Omutaka Kisekka Ddungu Patrick Kireega wa Buganda era nga ye Katikkiro w'ekika kino yayanjudde n'enteekateeka gye balina okuzza obuggya ennyumba Mukungaanya nga eno y'enkulu ku butaka bwabwe Kabaka Kintu mweyagattira ebika byonna gyeyagambye nti essubi erinaagisereka lya kuwemmenta kumpi obukadde bw'ensimbi kinaana mu musanvu (87,000,000/) eza Uganda.
Yagambye nti ky'ekiseera abantu bakomye okwemalira mu kutumbula emirimu gyabwe n'amaka gye bava nga beerabidde nti ebika y'ensibuko ya buli omu nga n'olwekyo balina okukulaakulanya obutaka bwabwe.
Mu kiseera kino ennyumba mukungaanya ewomoggose ebituli mu kasolya n'okwetoloola era nga abantu ba ssekinnoomu batandise okuwayo ensimbi enkalu, essubi n'emiti gy'ensambya okulaba nga batandika ku kaweefube w'okugizzaawo.
Mu nsisinkanon y'emu Omutaka Kisekka era yayanjulidde Omutaka Erukaana Lukanga, olukiiko oluggya olw'ekika ky'eMpologoma lw'agenda okuweereza nalwo munkisanja kino era ne yeebaza abaawummudde olw'okuweereza n'obumalirivu mu kisanja kyeyagambye nti kibaddemu okusomoozebwa omwali n'okubula kwa Jjajjaabwe Nnamuguzi omubuze Omutaka Wilson Ndawula.
Abaalondeddwa kuliko;
Ssaalongo Kiyimba Herman - Omumyuka asooka owa Katikkiro era Ssentebe w'olukiiko lw'abemituba, Prof. Hajji Kateregga Badru - minisita w'ebyettaka n'ebyobugagga by'e kika, Nnaalongo Nakimbugwe Grace - muwanika era minisita Ow'ensonga z'abakyala, Omulangira Ndawula Kato Emmanuel - muwandiisi era Ssentebe wa Kkooti y'eKika.
Abalala kuliko
Omulangira Kisekka Edward - Omumyuka owokubiri owa Katikkiro w'eKika, Omumyuka w'omuwanika era ow'ensonga z'abagenyi ba Ssebuganda, Omulangira Kasagga Kisekka Richard - Minisita ow'okuteekerateekera ekika n'enkulaakulana, Omulangira Lwakula Geoffrey - Minisita ow'ensonga z'amawulire n' ebyemizannyo, Kisekka Godfrey - mukwanaganya w'emirimu mu kika,
Nalinya Maria Conchetta - wa nsonga z'abavubuka n'okwekulaakulanya, Ssaalongo Kisekka Livingston - Ssentebe w'olukiiko oluvunanyizibwa ku nsonga z'embiri era Ssentebe w'olukiiko lwa ba Katikkiro b'amasiga. Ono amyukibwa abantu bana okuli
Omumbejja Naabateesa Naluwembe Ritah, Omumbejja Nassolo, Omulangira Bagaliira Paul ne
Kisozi Bernard Ye mumyuka owokuna.
Abaalondeddwa baalagiddwa okutandikirawo obuweereza buno kyokka ne balabulwa obuteenyigira mu kubangawo bukuukuulu na bubinja obulemesezza abangi okukola emirimu egituukana n'ennono y'ekika ne batuuka n'okweyita kye batali.
"Ssaagala wano bukuukuulu abasinga mwe badda okwogera ku bannabwe n'okukola ebitatuyamba. Awulira nti ssimumalirivu okukola emirimu egimutumiddwa nga 'akita' mangu!" Kisekka bweyagambye.
Omutaka Erukaana Lukanga ngabye omukulu W'ekika ky'eMpologoma yasiimye bazzukulube abaamutonedde ebirabo omwabadde kimeeme z'embuzi, enkoko, n'ensimbi enkalu n'ebintu ebirala kyokka n'abasaba okuyigiriza abaana ebifa mu bika byabwe ate n'okukuuma obumu batwale ekika mu maaso.

Ebiteeso (0)
Tuwe endowoozayo
Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo