Advertisement Area (970x90)
Kabaka

Obubaka Bwa Ssaabasajja Kabaka Obw’ Amazaalibwa Ga Yesu Kristo N’omwaka Omuggya 2026

Featured Image

WOFIISI YA
KABAKA WA BUGANDA

(Office of the King of Buganda)
P.O. Box 58,
KAMPALA – UGANDA

December 22, 2025

OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA OBW’ AMAZAALIBWA GA
YESU KRISTO N’OMWAKA OMUGGYA 2026

Tubalamusizza mwenna.

Tubeebaza essaala zemutusabira n’omukwano gwe mutulaga bulijjo. Naffe tubasabira. Twebaza Katonda atusobozesezza okutuuka ku Mazaalibwa ga Mukama waffe Yesu Kristo ag’omwaka 2025.

Abantu baffe bangi batuusiddwako obulabe omuli; okukubwa, okulemesa abeesimbyewo okutuuka mu bifo gye bategeka okwogera n’abalonzi, n’ebikolwa ebirala ebimenya amateeka n’okulinnyirira eddembe ly’obuntu. Bannaffe ab’olukiiko oluvunaanyizibwa ku by’okulonda mu ggwanga, tubasaba obutavumirira buvumirizi nsonga eno wabula n’okuyamba awatali kyekubiira, buli eyeesimbyewo okutuusa obubaka bwe eri abalonzi, awatali kulemesebwa n’okutulugunya abantu mu ngeri yonna. Ebikolwa bino tubivumirira kubanga tebiraga bugunjufu wadde enkulaakulana y’eggwanga.

Ebyobufuzi n’okulonda abakulembeze bye tulaba kati bijjuddemu okuyiwa ensimbi mu ngeri ey’ekyeyonoonero era twebuuza nti, ensimbi ennyingi bwe ziti zivawa? Okulonda okuyita mu mbeera bweti kuleetera abantu abatalina busobozi okutuuka mu bifo by’obukulembeze, ne basooka okwesasula ensimbi ze bakozesa mu kulondebwa. Ono ye kanaaluzaala w’enguzi n’okukotoggera enkulaakulana y’eggwanga lyaffe.

N’olwekyo, tubakubiriza okulonda n’obwegeéndereza.

Enkuba ekyali ya mwero mu bitundu ebisinga obungi mu ggwanga, ate nga mu mwezi gwa Museenene ne Ntenvu, twandisuubidde enkuba nnyingi mu bitundu byonna. Kino kitegeeza nti, emmere naddala kasooli n’ebijanjaalo omusana gubikosezza nnyo. Tubasaba okuddamu okutwala ensonga y’okutereka emmere naddala emmere enkalu ng’ekintu ekikulu mu bulamu bwaffe. Ne gavumenti, tugisaba okwogera amaanyi mu kugabira abantu baffe naddala abaliraanaye awali amazzi ebyuma ebibasobozesa okufukirira ebirime. Okukendeeza emisolo ku byuma ebifukirira nakwo kwetaagisa kisobozese omuntu wabuliijo okubyeegulira asobole okufuna amakungula amalungi.

Twongera okuwulira abantu abalina abaana ababula ne bataddamu kulabika. Oluvannyuma tusoma mu mpapula z’amawulire nga, abaana abamu battibwa mu bukambwe obuyitiridde n’okubasalako ebitundu by’omubiri. Twali tulowoza nti, ebikolwa nga bino byaggwaawo naye, bizzeemu buto. Kuno kw’ogatta n’abazigu abaakazibwako ab’ebijambiya abalumba abantu ekiro. Tubasaba okwekkuuma n’okukuuma abaana baffe naddala mu biseera bye tulimu eby’ennaku enkulu. N’abakuuumi b’eddembe okwongera amaanyi okukuuuma abantu baffe n’ebintu byabwe.

Tubaagaliza Amazaalibwa ga Yesu Kristu agajjudde essanyu n’omwaka omuggya gujjule emirembe n’obulamu obulungi.

Muwenda Mutebi II
KABAKA


Ebiteeso (2)

Tuwe endowoozayo

Kisekka Feb 16, 2026

Kirunji webalege

Lilian n. Feb 16, 2026

Gunda gunda Kabaka waffe. Tutwale mu maaso ebyo by'atugamba obuganda bwongere okulaala

Oyinza okusoma n'ebino