Advertisement Area (970x90)
Kabaka

OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA KU EID EL-FITR 2026

Featured Image

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza abantu hulijjo okussa ekitiibwa mu nsonga ey'okusiiba n'okwegayirira Allah olw'ebirungi ebigirimu. Mu kiseera kye kimu Kabaka Mutebi akulisizza abantu ba Uganda olw'okuyita mu kiseera ky'okulonda abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo okwaliwo gyebuvuddeko era n'asaba abaalondebwa okussa mu nkola ebyo bye baasuubiza abalonzi okusingira ddala nga balwanyisa ohuli bw'enguzi ate n'okulwanyisa obwavu obukudde ejjembe mu bantu.
Bino ssaabasajja yabitadde mu kiwandiiko eky'emiko ebiri mwe yayisizza obubaka bw'okukulisa abayisiraamu okusiiba.
Kabaka era yalungamuzza ne ku nkola y'omitimbagano abantu gye bettanidde ennyo ensangibzino  nga mwe muli n'e ' Tiktok' gyeyagambye nti erina kuba nga ekozesebwa okusomesa ebintu ebitwala eggwanga mu maaso n'okutuusa amawulire amatuufu ku bantu sso ssi kugikozesa okutyoboola n'okubavuma.
Mu bujjuvu obubaka bwa Kabaka bwe buno;

WOFISI YA KABAKA WA BUGANDA
(Office of the King of Buganda)
P.O. Box 58,
KAMPALA - UGANDA

March 17, 2026

OBUBAKA BWA SSAABASAJJA KABAKA KU EID EL-FITR 2026

Twebaza Allah atutuusizza ku lunaku luno olw’ekitiibwa. Tubeebaza okusiiba era tubakubiriza bulijjo ensonga y’okusiiba n’okwegayirira Allah, essibwemu ekitiibwa olw’ebirungi ebigirimu ebiyamba omuntu ssekinnoomu n’eggwanga lyonna.

Tubakulisa okuyita mu biseera eby’okulonda abakulembeze baffe ku mitendera egy’enjawulo. Tusubira nti, abaaloondedwa banaatukiriza ebyo bye baasubiza abaabalonda n’okusingira ddala, okulwanyisa obulyi bw’enguzi n’okusitula embeera y’obulamu bw’abantu baffe gye balimu.

Tuwulidde obugulumbo obutali bumu mu bitundu bya Uganda naddala mu Buganda olw’ennyuma lw’ekiseera ky’akalulu. Tukubiriza wabeewo empuliziganya wakati wa bonna abeetaba mu kulonda kiyambeko okunyweza emirembe egyannamaddala.

Abantu baffe bangi naddala abavubuka beeyunidde nnyo omukutu gw’empuliziganya ogwa TIKTOK. Tulowoza nti, omukutu nga guno guyamba okutusa amawulire eri bantu baffe naye, tusaba abavubuka baffe bagukozese nga bawa amawulire amatuufu n’okwogera ku bintu ebizimba eggwanga omuli okusomesa eddiini, ennima ey’omulembe, eby’ensoma, obujanjabi n’ebirala okusinga okwanika n’okuvuma abantu.

Tubasaba okwongera okusabira Obwakabaka bwaffe n’obufuzi obulungi obulimirirwa omuntu waabulijjo n’okumuyamba okukyusa embeera y’obulamu abasinga gye balimu n’okukuuma ebintu byabwe omuli ebibanja n’ettaka.

Tubaagaliza okukuza Eid El-Fitr n’emirembe.

Katonda abakuume.

Signature

Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA


Ebiteeso (0)

Tuwe endowoozayo

Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo

Oyinza okusoma n'ebino