Advertisement Area (970x90)
Kabaka

Lutikko y'omutukuvu Nicholas e Namungoona ewuumye ku mazaalibwa ga Kabaka

Featured Image
Lutikko y'omutukuvu Nicholas e Namungoona yawuumye nga abenzikiriza y'abasodokisi  beegatiddwako Obuganda mu kusaba kw'okujaguza emyaka 71 egy'ekitiibwa egya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Lutikko eno esangibwa ku Lusozi Namungoona mu kyaddondo yateekeddwa teekeddwa mu ngeri ey'enjawulo mubda ne mu luggya nga abategesi baagitonye n'ebimuli, engoye ebiwempe n'ebintu ebirala bingi ebyaggyeeyo ekitiibwa ky'omukolo gw'amazaalubwa g'Omutanda.
Ssaabalabirizi wabasodokisi Jeronymose Muzeeyi ye yakulembeddemu okusaba kuno nga Nnaabagereka Sylvia Nagginda Luswata yeeyabadde Onugenyi omukulu.
Okusaba kwatandise ku ssaawa taano ezenkya era nga bannaddiini abalala bangi okuva mu nzikiriza ez'enjawulo tebaalutumiddwa mwana. Abagenyi abalala kwabaddeko Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, abalangira n'abambejja,  abakungu okuva e Mengo ne gavumenti eyawakati,  Abataka abakulu ab'Obusolya, abaana b'amasomero, ababaka ba palamenti, n'abantu ba Kabaka okuva ebule ne bweya.
Abasodokisi baayimbye ennyimba ezitendereza omutonzi nga ku mukolo gwe gumu mwe mwabadde nokutendereza olwamazuukira ga Kristu ku luuyi olw'enzikiriza eno.
Omulabirizi w'e Jinja n'obuvanjuba bwa Uganda Silvester Kisitu bwe yabadde abuulira yeebaza Kabaka olwokubawa omukisa okutegeka amazaalibwa ge ag'Omulundi ogwe 71 era n'ategeeze nti kikulu nnyo kubanga obwakabaka bwebwabawa ettaka okutudde lutikko ku lusozi luno lubya nga na kaakati kwebasinziira okubunyisa enjiro y'enzikiriza yaabwe n'akkaatiriza nti enkolagana eno baakugenda mu maaso nga bagissaamu ekitiibwa.
" Ssaabasajja, era tukwebaza olw'okuleeta emirembe n'obumu mu bantu bo. Buganda eradde era abantu bo balina okukimanya nti ebyobuwangwa tebirina webikontanira na diini era sibya sitaani" Ssaabasumba Kisitu bweyagambye era neyenyamira olwabantu abalaga nti balina nnyo eddiini kyoka nga ebikolwa byabwe bikontana nakyo.
Ssabalabirizi Jeronymose Muzeeyi mu bubakabwe yasiimye Kabaka olw'okutumbula emirembe n'obumu kyeyagambye kyongedde okukuumira Buganda mu kifo ky'Omutima gwa Uganda.
Yasabye Kabaka nti nga alonda abaamibe alowooze ne ku bantu be ab'enzikiriza y'Abasodokisi kubanga nabo basobola okuweereza nobuvunanyizibwa.
Omukubiriza wa eklezia y'abasodokisi mu ggwanga Theodore Ssekikubo era nga ye Mubaka wa Lwemiyaya yenyamidde olw'abakulembeze abalondrbwa mu bukulembeze kyokka nga baliwo kukkusa mbuto zaabwe.
Yanokoddeyo abaagala okweyongeza emyaka n'effujjo eryakolebwa mu kulonda ebyekubiira ku njuyi ez'ebibiina ebimu. Yasabye wabeewo ekikolebwa olw'okukwata n'obwegendereza etteeka erigoba emmotoka enkandde ku nguudo lyeyasabye okwongera okwekenneenyezebwa n'abasuubuzi abakolera ku makubo abasendebwa nti bakolweko mu bwenkanya so ssi kwawulwamu abanene n'abatono ate ye 
Omubaka omukazi owe Ssese  Hellen Nakimu n'asaba abaasibwa kulwebyobufuzi baleetebwe mu kkooti bawozesebwe.

Ebiteeso (0)

Tuwe endowoozayo

Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo

Oyinza okusoma n'ebino