Bya Lilian Nalubega
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaake e Nakukuba mu Kyaddondo n'amulaga n'Omulangira Richard Ssemakookiro.
Kabaka eyabadde n'abamu ku bakuumi be, yabadde ayambadde mu ngeri ya kisaazisaazi.
Ng'atuuse mu maka g'omutaka mu biseera eby'emisana, Ssaabasajja yasoose kuyita Mutaka nti; "Owange Mutaka, ye ggwe wuuyo!" n'amusanyukira era ne bayingira. Yalambudde ennyumba y'Omutaka era olwamaze ne bayingira mu kimu ku bisenge ebiri ku nju eno Omutaka kye yakazaako erya 'Cemba' (chamber).
Eno mpaawo muntu eyakkiriziddwayo era ababiri bano baamazeeyo kumpi eddakiika 45 olwo ne bakomawo mu ddiiro nga Omutanda y'akulembedde.
Mu ddiiro, Omutanda yayise Omulangira Ssemakookiro ne munne ne basembera webaabadde n'Omutakaka buli omu n'amwanjulira munne.
"Ono omulabye? Oyo ye Mutaka Nadduli era muntu mukulu nnyo mu Bwakabaka" Ssaabasajja bweyagambye nga ayanjulira Omulangira Ssemakookiro, Omutaka Nadduli. Yakyukidde Omutaka Nadduli nga bw'akutte Omulangira Ssemakookiro ku kibegabega n'amugamba nti; " Ono ye Mulangira Ssemakookiro" olwo Omutaka n'amukwata ( Ssemakookiro) mu ngalo n'amwaniriza. Kabaka yazzizzaako okumwanjulira Grace Nsubuga. Ono y'eyabadde omulenzi omuto eyawerekedde ku Mulangira Ssemakookiro.
Ekyazzeeko ye Kabaka okusiibula nti "Kaale Omutaka, leka tukusiibule".
Baafulumye wabweru ku lubalaza webeekubisirizza ebifaananyi nga Kabaka atudde n'Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale. Beekubye akaama era Kabaka yalabiddwa nga afaayo okuwuliriza ebyo Omutaka Nadduli byeyabadde amugamba n'oluvannuuma ne bagenda.
Newankubadde bakira buli muntu agamba nti baabadde tebeetegekedde Kabaka, olwamulabye beekunze mu kaseera akampi ddala, buli alina engoma munju n'agiggyayo olwo nezisinsogoma.
Yabadde ntujjo yennyini anti zaavuze wakati mu kusaakaanya n'essanyu nga libatta olw'okulaba ku mwana wa Muteesa mu maka gano.
Yye Omutaka Nadduli yagambye nti; "Nnabadde ssiyinza kukyebeera nga ndaba abantu abayitirivu abataayitiddwa kyokka nga bakungaanye okumbugiririzaako Empologoma. Nange nnalagidde ne basala embuzi, abantu ne balya emisito n'abamu ne basiba! Kyabadde kya ttendo era ne kaakano mpulira nga ndi musanyufu nnyo!"
Kino wekyajjidde nga April 19, 2026, Kabaka yabadde yaakajaguza okuweza emyaka 71 egy'ekitiibwa nga ennaku z'omwezi April 13, 2026.
Kino kyayongedde ab'e Mpeewo mu kitundu Kino essanyu anti mu nnaku ntono emabega era Kabaka yalabwako ng'akyadde ku jinja Kkungu ery'ekika ky'e Mpeewo erikuumwa Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale y'omu ono gweyakyalidde ku Ssande akawungeezi.
Mu kifo kino Naakukuba wewali embiri za ba Kibaale abasinga obungi nga bwe bazze baddiringana nga kaakati Omutaka Daniel Nanziri Nadduli Kibaale y'aliwo mu kifo ekyo.
Gallery


Ebiteeso (0)
Tuwe endowoozayo
Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo