Advertisement Area (970x90)
Eby'Enjigiriza

Yiga ku ngeri Emyezi emiganda (amazooba) bwe gyafuna amannya

Featured Image

1. January - Gatonnya: kyabanga kyengera nga amatooke gengerera mu nsuka ne gavunda n'okutuka eminwe okunogoka (okutonnya) nga gigwa wansi
2. February - Mukutulansanja: kyabanga kyeya nga omusana gwememula endagala ne ziwotoka ne zifuuka essanja ate na lyo olw 'obukakanyavu ne likutuka nga embuyaga ekunta
3. March - Mugulansigo: ekyeya kiba kiggwaako nga Omuganda yeetegekera enkuba noolwekyo ababa tebaatereka nsigo batandika okuzigula okuva ku abo abazirina
4. April - Kafummuulampawu: enswa empawu mwe zibuukira.
5. May - Muzigo: enkuba eya Ttogo (omwaka omukazi) eba efudemba era olw'obunnyogovu mu bikko mutera okujja olufu olufaanana nga omuzigo ogukutte ku ssupu awoze
6. June - Ssebaaseka (Ssebo aseka): kibeera kyengera kya kasooli era ensiri zizaalira nnyo mu kasooli. Muka Ssemaka bwe yayokyanga kasooli n'atuma omwana okutwalira kitaawe alye, nga omwana ateeka kasooli awo kitaawe w'agalamidde n'addayo ewa nnyina. Omukazi bwe yayiisanga kasooli omulala era bwatyo ng'atuma omwana okukola kyekimu nga ku mulundi ogwasoose. Omwana bwe yaddangayo ewa kitaawe ng'asanga kasooli eyasoose tannaba kuliibwa. Bwe yassangawo omunwe omulala nga bw'ayita kitaawe nti Ssebo, Ssebo? Kasooli wo omulala naye wuuyo: kyokka nga taata amannyo gali kungulu. Omwana bwe yaddangayo ewa nnyina nga muka Ssemaka amubuuza oba kitaawe teyeebazizza bye baamuweerezza. Omwana yaddangamu nti 'bwe mmugamba nti kasooli wo wuuyo, Ssebo aseka busesi' Bambi nga olumbe lwamututte dda ennyindo gye zirembekera mukoka!
7. July - Kasambula: ekiseera kino kiba kya kusambula bisambu okwetegekera okusimba ensigo
8. August - Muwakanya: Guno gwe mwezi ogutandika omwaka omusajja Ddumbi era enkuba etandiikiriza okutonnya nga erimu okubwatuka kwa laddu (eggulu). Omuganda yanonooza nti no omwaka omukazi Ttogo guba gwesisiggiriza nga tegwagala omusajja Ddumbi guyingerewo, kati mu kuwakana okwo ne batuuma omwezi ogwo Muwakanya
9. September - Mutunda: enswa Entunda mwe zibuukira
10. October - Mukulukusa bitungotungo: enkuba eba efudemba nga mukoka akulukusa ebitungotungo ebyasigala mu nniro oluvannyuma lw'okukungula entugo
11. November - Museenene: Enseenene mwe zigwira
12. December - Ntenvu: ebiwuka ebiyitibwa entenvu biba bingi nga biteevunya


Ebiteeso (0)

Tuwe endowoozayo

Tewali yateseza. Beera namukisa oweeyo ekirowoozo kyo