More
    HomeEbitukwatakoEbikwata ku mukutu guno

    Ebikwata ku mukutu guno

    Published on

    spot_img
    ENNYANJULA
    https://sowikanjongandaculturalpress.online, mukutu gwa mpuliziganya ku by’Obuwangwa n’ennono.
    Gwatandikibwa munnamawulire era omukugu mu kubunyisa amawulire ageesigamye ku nnono n’Obuwangwa Omuky. Lilian Faith Nalubega Kisekka.
    Tusangibwa kumpi n’embuga ya Kireega w’Obwakabaka bwa Buganda e Kabowa kumpi ddala n’embuga ya Mujaguzo mu Sserwadda zooni.

     

    OKWANIRIZA;

    Tukwanirizza ku mukutu gwaffe https://sowikanjongandaculturalpress.online ‘ENSULO Y’ENNONO’ Tukuume ennono.

    BYETULUUBIRIRA;
    Tuluubirira okusomesa, okuyigiriza ate n’okusanyusa nga twesigama ku nnono n’obuwangwa eby’Abaganda.
    Tussa essira kukutuuka mu bika by’Abaganda, abantu Abaganda n’emikwano gyabwe nga tutunuulira okunnyikiza n’okusitula ennono zaabwe n’obuwangwa.
    Tukola ng’omuyungiro era eddoboozi ly’ebika by’Abaganda byonna. Ebyo ebitalina mukisa kuwulirwa okuyita ku mikutu emirala.  Lino ly’ekkubo okutali bukwakkulizo mwebisobola okiyita  okutuusa eddoboozi ku bazzukulu wonna mu Buganda n’ebweru.
    Ebifa ku bika byaffe byakukutuusibwako awatali kusosola mu mitendera.
    Agafa mu kika okuviira ddala ku nju okutuuka ku Kasolya. Era tukutuusa butereevu ku Ssaabataka akulira Abataka ‘KABAKA’ era nga yye gwe mutwe ogugatta Abataka mu bika eby’enjawulo.
    Ensangi zino ennono n’obuwangwa bityoboddwa nnyo. Ebirala bikaddiyiziddwa ate era nga bingi abantu ba Kabaka tebabimanyi bwe byabanga oba bwebirina okuba.
     Abantu bakozesa obutamanya ne bamenya ennono. Kino kiviirako abamu era okukitwala nti bw’etyo bweyandibadde ekitali kituufu.
    Wano nno tutunuulira nnyo ebyo ebiriwo, engeri gye bikolebwamu nga tukakasa nti tebiva ku nkola yaabyo eyedda giyite ennono.
    Tufaayo nnyo okulaba nga tuyamba abaana abato, abavubuka n’abantu abakuze okumanya olulimi lwabwe nga tetwerabidde  n’oyo atali Muganda kyokka nga yegomba okulumanya.
    Nga tuyita ku mukutu guno  tusomesa enkozesa y’ebigambo n’enzimba yaabyo. Tubiwa amakulu agenjawulo agabirimu ne tukwanguyiza okuyiga n’okulukozesa mu biseera n’ebifo ebituufu.
    Tuluubirira okutumbula enkozesa y’olulimi lwaffe Oluganda mu kulwogera n’okuwandiika.
    Ebifa mu bika byaffe tubikutuusaako mu bujjuvu era kino kyakuyamba buli omu gy’ali okugoberera ebifa ku nsibukoye ( mu kika kye)
    Tutunuulira abantu abakulu mu Bwakabaka bwa Buganda, obulamu bwabwe n’engeri gye bawerezza eggwanga lyabwe Buganda.
    EBIFO EBY’OBUWANGWA N’ENNONO;
    Bino tubissaako nnyo essira kubanga tukimanyi nti bikulu nnyo mu kubeerawo Kw’Omuganda. Ebisinga bisangibwa ku butaka sso nga Obutaka butambulira wamu n’ebika ate n’Omuganda. Eyo nno y’ennono!
    N’olwekyo, tukola okukuuma ennono n’obuwangwa.
    LWAKI OTWETAAGA?
    Tuli mukutu gwa mpuliziganya ogwesigamye ku nnono n’obuwangwa. Tukuggyirayo buli kyewetaaga mu nnonoyo nga tumaze okukikolako okunoonyereza okumatiza ne tukikusoosootolera nga kigwanidde.
    Tusomesa, tuyigiriza, tulungamya era tukuwa ebisanyusa nga tuyita mu nnono n’Obuwangwa.
    Wano wokka w’osobola okusinziira okulambika n’okulambulula mu bujjuvu ku buwangwa bwo. Yita ku mukutu gwaffe guno obeere nnamba emu mu kumanya. Osobola n’okutusanga ku mikutu gyaffe emirala gino;
    Facebook………………….
    Twitter…………………
    WhatsApp………………… Tukakasa nga otwekutte tosobola kulemwa kuyiga nga bwetuzimba eggwanga eddamu.

    Latest articles

    Kabaka nga aleega mujaguzo

    Kabaka nga aleega mujaguzo

    Tombs of Buganda Kings at Kasubi a UNESCO World Heritage Site

    The Tombs of Buganda Kings at Kasubi constitute a site embracing almost 30 ha...

    Eurovision Hopeful Sam Ryder Says ‘Cliquey Scoreboard’ Nearly Put Him Off Competition

    We all know that Oscar nominees get treated to incredible swag bags every year...

    Emmerdale Fans Puzzled By Dawn’s Mistake As She Betrays Alex in Huge Soap Twist

    We all know that Oscar nominees get treated to incredible swag bags every year...

    More like this

    Kabaka nga aleega mujaguzo

    Kabaka nga aleega mujaguzo

    Tombs of Buganda Kings at Kasubi a UNESCO World Heritage Site

    The Tombs of Buganda Kings at Kasubi constitute a site embracing almost 30 ha...

    Eurovision Hopeful Sam Ryder Says ‘Cliquey Scoreboard’ Nearly Put Him Off Competition

    We all know that Oscar nominees get treated to incredible swag bags every year...